Amos 2:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Olw'emisango esatu egy'e Mowabu, n'olw'emisango ena, kye nateesa sijja kukijjulula, kubanga yayokya amagumba ga kabaka wa Edomu ne gafuuka ennoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Olw’ebyonoono bya Mowaabu ebisatu weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Kubanga yayokya amagumba ga kabaka wa Edomu ne gafuuka evvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu be Mowaabu bakoze ebibi emirundi n'emirundi, siireme kubabonereza, kubanga bayokya amagumba ga kabaka wa Edomu n'ebagafuula evvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Abantu b'e Mowaabu bakoze ebibi emirundi n'emirundi. N'olwekyo sirirema kubabonereza, kubanga baayokya amagumba ga kabaka w'e Edomu, ne gafuuka evvu. Zef 2:8-11
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Mowaabu bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwakyo; kubanga yayokya amagumba ga kabaka wa Edomu n'agafuula evvu: