Amos 2:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nasitusa abalanzi mu baana bammwe n'abanazireewo mu bavubuka bammwe. Si bwe gutyo bwe gwali, bantu ba Yisirayeli?” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nayimusa abamu ku batabani bammwe okubeera bannabbi, ne ku balenzi bammwe okuba Abawonge ba Mukama. Si bwe kiri bwe kityo abantu ba Isirayiri?” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnalonda abamu ku batabani bammwe okuba bannabbi, n'abamu ku balenzi bammwe okuba Abawonge. Si bwe kiri bwe kityo, mmwe abaana ba Isiraeri? Bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nalonda abamu ku batabani bammwe babe abalanzi, n'abamu ku bavubuka bammwe babe abawonge. Ekyo si bwe kiri, mmwe Abayisirayeli? Nze Mukama, nze njogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ngolokosa ku batabani bammwe okuba bannabbi, ne ku balenzi bammwe okuba Abawonge. Si bwe kiri bwe kityo, ai mmwe abaana ba Isiraeri? bw'ayogera Mukama.