Amos 2:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Naye mmwe mwawaliriza abanazireewo okunywa evviini, ne mulagira abalanzi balekere awo okulanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye mmwe ne mudda mu kuwa Abawonge ba Mukama omwenge okunywa, ne muwa bannabbi amateeka nga mubagamba nti temuwa byabunnabbi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mmwe mwadda mu kuwa Abawonge omwenge okunywa, ne muwa bannabbi ebiragiro nga mubagamba nti, ‘Temulagula.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mwanywesa abawonge omwenge, ne mulagira abalanzi nti: ‘Temulanga.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ne muwa Abawonge omwenge okunywa; ne mulagira bannabbi nga mwogera nti Temulagula.