Amos 2:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
embiro ziribula omuwenyusi, ow'amaanyi talyongeramu ku maanyi, n'omutabaazi talisobola kwewonya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abanguwa tebaliwona, n’ab’amaanyi tebalikuŋŋaanya maanyi gaabwe era n’omuzira nnamige talisobola kuwonya bulamu bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amaanyi agokudduka galibula ow'embiro, ab'amaanyi baliggwaamu endasi, n'omuzira nnamige talisobola kuwonya bulamu bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Embiro tezirigasa baddusi, ab'amaanyi baliggwaamu endasi, n'abazira tebalyewonya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo okudduka kulibula ow'embiro, so n'ow'amaanyi talyongera maanyi ge, so n'omuzira talyewonya: