Amos 2:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulasi w'obusaale taligumirawo, ow'emisinde mu bigere talisumattuka, n'omwebagazi w'embalaasi talitaakiriza bulamu bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukubi w’obusaale omukugu taliyimirira kunywera, n’omuserikale ow’ebigere nnakinku talisobola kuwenyuka. Abo abasajja abazira abeebagazi b’embalaasi tebalisobola kuwonya bulamu bwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abalasi b'obusaale tebaliguma kuyimirirawo, omuddusi w'embiro talyewonya wadde n'oyo eyeebagala embalaasi talisobola kuwonya bulamu bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalasi b'obusaale tebaliguma kuyimirirawo, abaddusi b'embiro tebalyewonya, wadde abeebagazi b'embalaasi okuwonya obulamu bwabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so n'oyo akwata omutego taliyimirira; era n'omuddusi w'embiro talyewonya wadde n'oyo eyeebagala embalaasi talyewonya: