Amos 2:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndisaanyaawo omufuzi waakyo, ne nzitirako n'abakungu be bonna.” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndizikiriza omukulembeze wa Mowaabu n’abakungu baamu bonna, ndibatta,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndizikiriza omufuzi we Mowaabu wamu n'abakungu be bonna, bwatyo bw'ayogera Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndisaanyaawo omufuzi w'e Mowaabu awamu n'abakungu bonna ab'omu nsi eyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ndimalawo omulamuzi okuva wakati mu kyo, era ndittira abakungu baamu bonna wamu naye, bw'ayogera Mukama.