Amos 2:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Olw'emisango esatu egya Yuda, n'olw'emisango ena, kye nateesa sijja kukijjulula, kubanga baasambajja etteeka ly'Omukama n'ebiragiro bye ne batabikwata; kubanga balubaale ab'obulimba baabawubisa, abo bajjajjaabwe be baali bagoberedde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Olw’ebyonoono bya Yuda ebisatu weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Kubanga banyoomye amateeka ga Mukama, ne batakuuma biragiro bye nabawa ne bagondera bakatonda ab’obulimba bajjajjaabwe be baagobereranga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu b'omu Yuda bakoze ebibi emirundi n'emirundi, siireme kubabonereza, kubanga bagaanyi amateeka ga Mukama, era tebakutte biragiro byange. Eby'obulimba bajjajjaabwe bye baagobereranga bibawabizza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Abantu b'omu Buyudaaya bakoze ebibi emirundi n'emirundi. N'olwekyo sirirema kubabonereza kubanga bagaanye amateeka gange, era tebakutte biragiro byange. Eby'obulimba bajjajjaabwe bye baagobereranga, bibawubisizza,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Yuda bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwe okumuvaako; kubanga bagaanyi amateeka ga Mukama, so tebakutte biragiro bye, n'eby'obulimba byabwe bibawabizza, bajjajjaabwe bye baagobereranga mu kutambuia kwabwe: