Amos 2:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Olw'emisango esatu egya Yisirayeli, n'olw'emisango ena, kye nateesa sijja kukijjulula, kubanga omuntu omutuukirivu bamutunzeemu ffeeza, n'omwavu ne bamutundamu omugogo gw'engatto;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Olw’ebyonoono bya Isirayiri ebisatu weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Batunda obutuukirivu bafune ffeeza, ne batunda n’abaavu olw’omugogo gw’engatto.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu ba Isiraeri bakoze ebibi emirundi n'emirundi, siireme kubabonereza, kubanga batunze mu buddu abantu abatalina musango, n'abaavu abatasobola kusasulira wadde omugogo gw'engatto.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Abayisirayeli bakoze ebibi emirundi n'emirundi. N'olwekyo sirirema kubabonereza, kubanga batunze mu buddu abantu abatalina bukuusa, naye abatasobola kusasula mabanja, era abaavu abatasobola kusasulira wadde omugogo gw'engatto.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Isiraeri bisatu, weewaawo, olw'ebina, siiikyusa kubonerezebwa kwe okumuvaako; kubanga batunze omutuukirivu olw'effeeza n'eyeetaaga olw'omugogo gw'engatto: