Amos 2:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
emitwe gy'abaavu bagisambiridde mu ttaka, abanaku ne babasindiikiriza eri; omwana ne kitaawe bagenda ku muwala omu, ne boonoona batyo erinnya lyange ettukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balinnyiririra emitwe gy’abaavu mu nfuufu, n’abajoogebwa ne batalamulwa mu bwenkanya. Omwana ne kitaawe bayingira eri omuwala omu ne boonoona erinnya lyange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balinnyirira abatesobola ng'abalinnyirira enfuufu ey'oku nsi, era bakyamya olugendo olw'abawombeefu. Omulenzi ne kitaawe benda ku muwala omu, bwe batyo ne boonoona erinnya lyange ettukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balinnyirira abateeyinza, ng'abalinnyirira enfuufu, ne bagoba omwavu mu kkubo. Omulenzi ne kitaawe benda ku muwala omu, bwe batyo ne boonoona erinnya lyange ettukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abawankirawankira enfuufu ey'oku nsi ey'oku mutwe gw'abaavu, ne bakyamya olugendo olw'abawombeefu: n'omusajja ne kitaawe baliyingira eri omuwala omu, okwonoona erinnya lyange ettukuvu: