Amos 2:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Beeyala buli awali omwaliiro mu byambalo ebyaweebwa ng'omusingo; banywera mu nnyumba y'Omukama omwenge ogwasingwa ng'engassi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bagalamira okumpi ne buli kyoto ku ngoye ezaweebwayo ng’obweyamo. Mu nnyumba ya bakatonda baabwe mwe banywera omwenge oguleetebwa abatanziddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bagalamira ku mabbali ga buli kyoto ku ngoye ze baggye ku baavu ng'omusingo. Mu nnyumba ya Katonda waabwe mwe banywera omwenge gw'abo be batanziza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku mabbali ga buli alutaari, bagalamira ku byambalo bye baggye ku baavu ng'omusingo. Mu Ssinzizo lya Katonda waabwe mwe banywera omwenge ogw'omutango gwe baggye ku bantu ababalinako amabanja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era bagalamira ku mabbali ga buli kyoto ku ngoye ze basingirwa, ne mu nnyumba ya Katonda waabwe mwe banywera omwenge gw'abo be batanze.