Amos 2:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso nze nazikiriza Omwamori mu maaso gaabwe, eyali omulangavvu ng'entolookyo, ow'amaanyi ng'omuvule; nazikiriza ebibala bye waggulu n'emirandira gye wansi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nazikiriza Abamoli ku lwabwe newaakubadde nga baali bawanvu ng’emivule era nga ba maanyi ng’emyera. Nazikiriza ebibala ebyali waggulu okutuuka ku mirandira egyali wansi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mmwe abantu bange kwali kubalumirwa, nze okusaanyaawo Abamoli nga mulaba, abaali abawanvu ng'emivule, era ab'amaanyi ng'emyera. Ebyabwe byonna nabizikiriza okuva ku bibala ebyali waggulu okutuuka ku mirandira egyali wansi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Sso ng'olw'okulumirwa mmwe abantu bange, nasaanyizaawo ddala Abaamori nga mulaba, abantu abaali abawanvu ng'emivule, era ab'amaanyi ng'emyera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye nazikiriza Omwamoli mu mberi yaabwe, obuwanvu bwe bwali ng'obuwanvu obw'emivule, era yali wa maanyi ng'emyera; era naye nazikiriza ebibala bye engulu n'emmizi gye wansi.