Amos 3:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi bantu ba Yisirayeli, muwulire Omukama ky'abavunaana, ne ky'avunaana ekika kyonna kye naggya mu Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muwulire ekigambo kino Mukama ky’aboogerako mmwe abaana ba Isirayiri, ennyumba yonna gye naggya mu Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muwulire ekigambo kino Mukama ky'aboogeddeko, mmwe abaana ba Isiraeri, eggwanga lyonna lye yaggya mu nsi ey'e Misiri, agamba nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmwe Abayisirayeli, muwulire ekigambo kino Mukama ky'aboogeddeko mmwe eggwanga lyonna lye yaggya mu nsi ey'e Misiri. Agamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muwulire ekigambo kino Mukama ky'aboogeddeko, mmwe abaana ba Isiraeri, ku kika kyonna kye nnalinnyisa nga nkiggya mu nsi y'e Misiri, ng'ayogera nti