Amos 3:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Tebamanyi na kukola kiruŋŋamu,” Omukama bw'agamba, “mu mbiri zaabwe batuumamu bukambwe na bunyazi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama agamba nti, “Abantu abajjuzza ebigo byabwe n’ebintu ebinyage, tebamanyi kukola kituufu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama agamba bwati, “Abantu abo tebamanyi kukolera ku mazima: bateeka mu mayumba gaabwe ebintu ebinyage n'ebibbe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Abantu abo tebamanyi kukolera ku mazima: bateeka mu mayumba gaabwe ebintu ebinyage n'ebibbe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga tebamanyi kukola bya nsonga, bw'ayogera Mukama, abo abatereka ekyejo n'obunyazi mu mayumba gaabwe.