Amos 3:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olw'ekyo Omukama kino ky'agamba: “Omulabe ajja kuzingiza ensi, ebigo byo ajja kubisuula wansi, n'embiri zo zijja kunyagibwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Omulabe alirumba ensi, n’amenyaamenya ebigo byo eby’amaanyi era n’abinyagulula.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, “Omulabe kyaliva yeetooloola ensi yaabwe, n'amenya ebigo byabwe, n'anyaga eby'omu mayumba gaabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omulabe kyaliva yeetooloola ensi yaabwe, n'amenya ebigo byabwe, n'anyaga eby'omu mayumba gaabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Walibaawo omulabe, okwetooloola ensi enjuyi zonna: naye alikkakkanya amaanyi go okukuvaako, n'amayumba go galinyagibwa.