Amos 3:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Omusumba nga bw'awonya mu kamwa k'empologoma amagulu abiri oba akasammambiro k'okutu, bwe batyo n'Abayisirayeli bwe baliwona, abasula mu Samariya ku lubuubuuto lw'ekitanda, ne mu Damasiko ku kiriri kyabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ng’omusumba bw’agezaako okutaasa endiga ye okuva mu kamwa k’empologoma n’asikayo amagulu abiri obubiri n’ekitundu ky’okutu, bwe batyo Abayisirayiri bwe balinunulibwa, abo abatuula mu Samaliya ku nkomerero y’ebitanda byabwe ne ku bitanda byabwe mu Ddamasiko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Ng'omusumba bw'asuuzaako amagulu abiri oba ekitundu ky'okutu eky'endiga eriiriddwa empologoma, bwe batyo n'abaana ba Isiraeri ababeera mu Samaliya bwe baliwonawo abatono ku abo kaakati abagandaalira mu buliri obw'omuwendo omungi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Ng'omusumba bw'asuuzaako amagulu abiri, oba ekitundu ky'okutu eky'endiga eriiriddwa empologoma, n'Abayisirayeli ababeera mu Samariya bwe baliwonawo abatono ku abo kaakati abagandaalira mu buliri obw'omuwendo omunene.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Ng'omusumba bw'awonyaako mu kamwa k'empologoma amagulu abiri oba ekitundu ky'okutu; bwe batyo abaana ba Isiraeri bwe baliwonyezebwa, abatuula mu Samaliya mu nsonda y'ekiriri ne ku bigugu ebya aliiri eby'oku kitanda: