Amos 3:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Muwulire, mulumirize ennyumba ya Yakobo,” Omukama Katonda w'Amagye y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Muwulirize kino era mulumirize enju ya Yakobo yonna,” bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Muwulire era mulabule ennyumba ya Yakobo, bw'ayogera Mukama Katonda, Katonda ow'eggye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama, Katonda Omuyinzawaabyonna agamba nti: ‘Muwulire era mulabule bazzukulu ba Yakobo.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muwulire mube abajulirwa eri ennyumba ya Yakobo, bw'ayogera Mukama Katonda, Katonda ow'eggye.