Amos 3:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndimenyawo ennyumba y'obudde bw'empewo n'ennyumba ey'ekyeya; ennyumba ez'amasanga zirizikirizibwa, embiri ennene zirisaanyizibwawo.” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ndisaanyaawo ennyumba ebeerwamu mu biseera eby’obutiti, awamu n’ennyumba ebeerwamu mu biseera ey’ebbugumu; era ndimenyaamenya n’ennyumba ezayolebwa n’amasanga, ne nsanyaawo n’embiri,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndisaanyaawo amayumba ge babeeramu mu budde obw'obutiti, n'amayumba ge babeeramu mu budde obw'ekyeya. Amayumba agatimbiddwa amasanga galisaanawo n'amayumba amanene galizikirizibwa, bw'ayogera Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndizikiriza amayumba, ge babeeramu mu budde obw'obutiti, n'amayumba ge babeeramu mu budde obw'ekyeya. Amayumba agatimbiddwa amasanga galisaanawo, n'amayumba amanene galizikirizibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndikuba ennyumba eya ttoggo wamu n'ennyumba ey'ekyeya; n'ennyumba ez'amasanga ziribula, n'amayumba amanene galikoma, bw'ayogera Mukama.