Amos 3:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mu bika byonna ebiri ku nsi, mmwe mwekka mmwe namanya, n'olw'ekyo mwenna nzija kubabonereza olw'ebibi byammwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mu bantu bonna abali ku nsi, mmwe mwekka be nalonda. Kyendiva mbabonereza olw’ebibi byammwe byonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mmwe mwekka be nnamanya ku bika byonna eby'ensi ne mbalonda, kyendiva mbabonereza olw'obutali butuukirivu bwammwe bwonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mmwe mwekka mu mawanga gonna agali ku nsi, mmwe naluŋŋamya. Kyendiva mbabonereza olw'ebibi byammwe byonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmwe mwekka be nnamanya ku bika byonna eby'ensi zonna: kyendiva mbabonereza olw'obutali butuukirivu bwammwe bwonna.