Amos 3:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekinyonyi kiyinza okugwa ku ttaka mu kitimba okuggyako nga waliwo akatego akakitegeddwa? Omutego gumasuka ne guva ku ttaka okuggyako nga gukwasizza?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akanyonyi kayinza okugwa mu mutego nga tewali kikasikirizza? Omutego gumasuka nga teguliiko kye gukwasizza?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekinyonyi kikwatibwa mu mutego nga tebakiteze kakunizo? Omutego gumasuka nga tewali kigumasudde?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekinyonyi kikwasibwa mu mutego nga tewali kyakulya kye bakiteze? Omutego gumasuka nga tewali kigumasudde?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ennyonyi eyinza okugwa mu mutego ku nsi nga tebagiteze kakunizo? omutego gumasuka okuva wansi nga teguliiko kye gukwasizza?