Amos 3:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eŋŋombe efuuyirwa mu kibuga abantu ne batatya? Akabi kagwa mu kibuga, wabula ng'Omukama y'akaleese?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akagombe kavugira mu kibuga abantu ne batatya? Akabenje kagwa mu kibuga nga Mukama si y’akaleese?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bafuuwa ekkondeere ly'olutalo mu kibuga, abantu ne batatya? Akabi kagwa mu kibuga, Mukama nga si ya kaleese?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bafuuyira eŋŋombe z'olutalo mu kibuga abantu ne batatya? Akabi kagwa mu kibuga nga Mukama si ye akasindise?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bafuuyira ekkondeere mu kibuga, abantu ne batatya? obubi bugwa ku kibuga, Mukama nga tabuleese?