Amos 3:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mazima ddala, Omukama Katonda tabaako ky'akola ng'ekyama kye tasoose kukibikkulira baweereza be abalanzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ddala Mukama Katonda takola kintu kyonna nga tasoose kukibikkulira baweereza be, bannabbi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mazima Mukama Katonda taliiko ky'akola wabula ng'amaze okukibikkulira abaweereza be, bannabbi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda taliiko ky'akola wabula ng'amaze kukitegeezaako abaweereza be abalanzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mazima Mukama Katonda taliiko ky'alikola wabula ng'abikkulidde abaddu be bannabbi ekyama kye.