Amos 3:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mulangirire mu mbiri z'omu Asudodi ne mu mbiri z'omu nsi y'e Misiri nti: “Mukuŋŋaanire mu nsozi za Samariya, mulabe obutabanguko enkumu obukirimu, n'okunyigirizibwa kw'abakirimu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Langirira eri ebigo by’e Asudodi n’eri ebigo by’e Misiri nti, “Mujje mukuŋŋaanire ku nsozi z’e Samaliya mulabe akajagalalo akanene akali eyo n’abantu be nga bwe bajoogebwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mulangirire mu mbiri z'omu Asudodi n'ez'omu Misiri, mugambe nti, “Mukuŋŋaanire ku nsozi ez'e Samaliya, mulabe obujagalalo obuli eyo, n'ejjogo eririyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulangirire mu mbiri z'omu Asudoodi n'ez'omu Misiri, mugambe nti: “Mukuŋŋaanire ku nsozi z'e Samariya, mulabe omuvuyo omungi n'ejjoogo ebikirimu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mulangirire mu mayumba mu Asudodi ne mu mayumba mu nsi y'e Misiri, mwogere nti Mukuŋŋaanire ku nsozi ez'e Samaliya, mulabe enjoogaano eziri omwo bwe zenkana obungi, n'okujooga bwe kuli okuli omwo wakati.