Amos 4:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nabasindikira ebibonerezo ng'eby'omu Misiri, ne nzita abavubuka bammwe n'ekitala, embalaasi zammwe ne zinyagibwa, najjuza ekivundu mu nsiisira zammwe ne kisaanikira ennyindo zammwe; naye temwadda gye ndi.” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nabasindikira kawumpuli nga gwe nasindika mu Misiri. Abavubuka bammwe ne mbattira mu lutalo n’ekitala awamu n’embalaasi zammwe ze mwawamba. Okuwunya kw’olusisira lwammwe ne kuyitirira nnyo naye era ne mugaana okudda gye ndi,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Nabasindikira kawumpuli nga gwe n'asindika mu b'e Misiri. Abavubuka bammwe ne mbattira mu lutalo n'ekitala, n'embalaasi zammwe ne zinyagibwa. Najjuza ennyindo zammwe ekivundu ky'emirambo mu nsiisira zammwe, naye era temwadda gye ndi, bw'ayogera Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nasindika kawumpuli mu mmwe nga gwe nasindika mu b'e Misiri. Natta abavubuka bammwe mu lutalo, embalaasi zammwe ne zinyagibwa. Najjuza ennyindo zammwe ekivundu ky'emirambo mu nsiisira zammwe. Naye era ne mutadda gye ndi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mpeerezza mu mmwe kawumpuli ng'engeri ey'e Misiri bwe yali: abalenzi bammwe mbasse n'ekitala, ne nziyawo embalaasi zammwe; ne nninnyisiza ne mu nnyindo zammwe okuwunya kw'olusiisira lwammwe: era naye temuddanga gye ndi, bw'ayogera Mukama.