Amos 4:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nabazikiriza nga Katonda bwe yazikiriza Sodoma ne Gomorra, mmwe ne mubeera ng'ekitawuliro ekiggyiddwa ku luyiira; naye temwadda gye ndi.” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nazikiriza abamu ku mmwe nga bwe nakola Sodomu ne Ggomola, ne muba ng’olumuli olusikiddwa mu muliro ogwaka naye era ne mulema okudda gye ndi,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Nazikiriza abamu ku mmwe nga bwe nnakola ab'e Sodomu ne Ggomola. mmwe abaawonawo ne muba ng'omumuli oguggyiddwa mu muliro, naye era temwadda gye ndi, bw'ayogera Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nazikiriza abamu mu mmwe, nga bwe nazikiriza ab'e Sodoma ne Gomora. Mmwe abaawonawo ne muba ng'omumuli oguggyiddwa mu muliro. Naye era ne mutadda gye ndi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nsudde abamu ku mmwe nga Katonda bwe yasuula Sodomu ne Ggomola, nammwe ne muba ng'omumuli ogusiikibwa mu muliro: era naye temuddanga gye ndi, bw'ayogera Mukama.