Amos 4:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Olwekyo nange kino kye nzija okukukola, ggwe Yisirayeli; ate kubanga kino nzija kukikukola, Yisirayeli, weeteeketeeke okusisinkana Katonda wo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kyendiva nkukola bwe ntyo, ggwe Isirayiri, era ndikwongerako ebibonoobono. Noolwekyo weetegeke okusisinkana Katonda wo, ggwe Isirayiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kyendiva nkubonereza, ayi Isiraeri: N'olwekyo weeteeketeeke okunsisinkana gwe Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale mmwe Abayisirayeli, nja kubabonereza. N'olwekyo mweteeketeeke okunsisinkana.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyendiva nkukola bwe nti, ai Isiraeri: era kubanga ndikukola kino, weeteeketeeke okusisinkana ne Katonda wo, ai Isiraeri.