Amos 4:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyakola ensozi, n'atonda empewo, abikkulira omuntu ebirowoozo bye, oyo afuula mmambya ekizikiza, atambula ku ntikko z'ensi, Omukama Katonda w'Amagye lye linnya lye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga laba, oyo eyatonda ensozi era ye yatonda n’embuyaga era abikkulira omuntu ebirowoozo bye. Yafuula enkya okubeera ekiro, era alinnya mu bifo ebigulumivu eby’ensi. Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga oyo abakolako ye Katonda eyatonda ensozi, eyatonda embuyaga, era ategeera omuntu by'alowooza. Yafuula enkya okubeera ekiro, era atambulira ku ntikko z'ensozi. Mukama Katonda ow'eggye lye linnya lye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda ye yabumba ensozi, era ye yatonda embuyaga, era ye ategeeza abantu ye by'alowooza. Obudde obubadde obw'emisana ye abufuula okuba obw'ekiro. Ye atambulira ku ntikko z'ensozi. Erinnya lye ye Mukama, Katonda Nnannyinimagye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga, laba, oyo abumba ensozi, era atonda embuyaga, era abuulira omuntu by'alowooza, afuula enkya okuba ekizikiza, era alinnya ku bifo ebigulumivu eby'ensi; Mukama Katonda ow'eggye lye linnya lye.