Amos 4:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda alayidde obutuukirivu bwe nti: “Ennaku zijja kubajjira lwe muliwalaawalirwa ku malobo, n'abasembayo mu mmwe balitwalibwa ku malobo agavuba;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu butukuvu bwe Mukama Katonda alayidde nti, “Ekiseera kijja lwe balibasika n’amalobo, era abalisembayo ku mmwe ne basikibwa n’amalobo agavuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda nga bwali omutuukirivu alayidde nti, Laba, ennaku zijja lwe balibatungamu amalobo, ne babaggyawo mwenna, nga babasika ng'ebyennyanja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga Mukama Katonda bw'ali omutuukirivu, alayidde nti: “Ennaku zijja kutuuka, lwe balibatungamu amalobo, ne babaggyawo mwenna, nga babasika ng'ebyennyanja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda alayidde obutukuvu bwe nga, laba, ennaku ziribatuukako lwe balibaggyawo n'amalobo, n'ekitundu kyammwe ekirifikkawo balibaggyawo n'amalobo agavuba.