Amos 4:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
buli omu alifuluma butereevu, ng'ayita mu bituli mu bisenge, ne mukasukibwa mu Arumoni.” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulisikibwa okuva mu mayumba gammwe ne musuulibwa ebweru nga muyisibwa mu bituli ebibotoddwa mu bbugwe, musuulibwe ku Kalumooni, bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muliwalulwa okuva mu mayumba gammwe ne musuulibwa ebweru nga muyisibwa mu bituli ebibotoddwa mu bisenge, musuulibwe ku Kalumooni, bw'ayogera Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balibawalula nga babayisa mu bituli ebiriraanyeewo, ebimogoddwa mu bisenge, ne babasuula mu Harumooni.” Mukama ye ayogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mulivaamu nga muyita mu bituli ebiwaguddwa, buli nte ng'esimbira ddala mu maaso gaayo; ne mwesuula mu Kalumooni, bw'ayogera Mukama.