Amos 4:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mutambire n'ekizimbulukusa ekitambiro eky'okwebaza; mulaalaase wonna ebitambiro byammwe ebyeyagalire; mulangirire, anti ekyo kye mwagala, bantu ba Yisirayeli!” Omukama Katonda y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muweeyo ekiweebwayo eky’okwebaza eky’emigaati egizimbulukusibbwa, mulangirire n’ebiweebwayo eby’ekyeyagalire; mwe mwenyumiririza, mmwe Abayisirayiri kubanga ekyo kye mwagala,” bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muweeyo ssaddaaka ey'okwebaza ey'emigaati egizimbulukusiddwa, mulangirire ebiweebwayo bye muwaayo nga mweyagalidde. Kubanga ekyo kye mwenyumiririzamu, ayi mmwe abaana ba Isiraeri, bw'ayogera Mukama Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muweeyo ekirabo eky'emigaati egizimbulukusiddwa, gyokebwe nga mwebaza Katonda, era mulangirire ebirabo bye muwaayo nga mweyagalidde. Mubirangirire, kubanga ekyo kye musiima okukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
muweeyo ssaddaaka ey'okwebaza ku ebyo ebizimbulukuswa, mulangirire ebiweebwayo ku bwammwe mubiraalike: kubanga ekyo kye musiima, ai mmwe abaana ba Isiraeri, bw'ayogera Mukama Katonda.