Amos 4:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nabawa amannyo amayonjo mu bibuga byammwe byonna, n'okubulwa omugaati mu byalo byammwe byonna, naye temwadda gye ndi.” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nabaleetera enjala embuto zammwe ne ziba njereere mu buli kibuga, ne ssibawa kyakulya mu buli kabuga, naye era ne mugaana okudda gye ndi,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Nabaleetera enjala mu bibuga byammwe byonna, emmere n'ebula mu mayumba gammwe gonna, naye era temwadda gye ndi, bw'ayogera Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naleeta enjala mu bibuga byammwe byonna, emmere n'ebula ne mu byalo byammwe. Naye era ne mutadda gye ndi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nange mbawadde obulongoofu bw'amannyo mu bibuga byammwe n'okubulwa emmere mu mayumba gammwe gonna: era naye temuddanga gye ndi, bw'ayogera Mukama.