Amos 4:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Era nabamma n'enkuba, nga wakyasigadde emyezi esatu okukungula, ne ngitonnyesa ku kibuga kimu, ne sigitonnyesa ku kirala; mu nnimiro emu enkuba n'etonnya, mu ndala n'etetonnya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ne mbamma enkuba ng’ekyabulayo emyezi esatu amakungula gatuuke. Ne ntonnyesa enkuba mu kibuga ekimu ne ngiziyiza mu kirala. Yatonnyanga mu nnimiro emu, mu ndala n’etatonnya, ebirime ne biwotoka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naziyiza enkuba okutonnya ng'ekyabulayo emyezi esatu okutuuka ku makungula: Natonnyesa enkuba ku kibuga ekimu, ne ngiziyiza okutonnya mu kibuga ekirala. Yatonnyanga mu nnimiro emu, ate mu ndala n'etatonnya, ebirime ne biwotoka ne bikala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naziyiza enkuba okutonnya, ng'ekyabula emyezi esatu okutuuka ku makungula. Natonnyesa enkuba mu kibuga ekimu, ne ngiziyiza okutonnya mu kibuga ekirala. Yatonnya mu kitundu ekimu, ekitundu ekirala ne kikala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nange mbaziyirizza enkuba, ng'ekyasigaddeyo emyezi esatu okutuusa amakungula: ne ntonnyesa enkuba ku kibuga ekimu, ne nziyiza enkuba okutonnya ku kibuga ekirala: ekitundu kimu kyatonnyebwako, n'ekitundu ky'etaatonnyako ne kiwotoka.