Amos 4:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebibuga bibiri oba bisatu byabundabundanga okulaga mu kibuga ekimu banyweyo ku tuzzi, naye tebakkutanga; naye temwadda gye ndi.” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu ne bavanga mu kibuga ekimu ne balaga mu kirala nga banoonya amazzi banyweko, naye ne gababula; naye era ne mutakyuka kudda gye ndi,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu ne bavanga mu kibuga ekimu ne bagenda mu kirala okunywa amazzi, naye ne batasangayo gamala kunywa kukuta. Naye era temwadda gye ndi, bw'ayogera Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu bibuga ebibiri oba ebisatu baatambulanga ne balaga mu kibuga ekirala okunywa amazzi, naye ne batasangayo gamala kuloga nnyonta. Naye era ne mutadda gye ndi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ab'omu bibuga ebibiri oba bisatu ne batambulatambula ne batuuka mu kibuga ekimu okunywa amazzi, so tebakkutanga: era naye temuddanga gye ndi, bw'ayogera Mukama.