Amos 5:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga mulinnyirira omwavu, ne mumubinika omusolo gw'eŋŋano, bwe muneezimbira ennyumba n'amayinja amabajje, temujja kuzisulamu; bwe nunaasimba emizabbibu egyegombebwa, temujja kuginywako vviini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olinnyirira omwavu, n’omuwaliriza okukuwa emmere ey’empeke. Newaakubadde nga mwezimbidde amayumba ag’amayinja, temuligabeeramu; era newaakubadde nga mwesimbidde ennimiro z’emizabbibu ennungi, temulinywa ku wayini waamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nga bwe munyigiriza abaavu, ne mubanyagako eŋŋaano yaabwe, amayumba ag'amayinja amateme ge muzimbye temuligabeeramu, era n'emizabbibu emirungi gye musimbye temulinywa ku mwenge gwagyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nga bwe munyigiriza abaavu, ne mubanyagako eŋŋaano yaabwe, amayumba ag'amayinja ge muzimbye, temuligabeeramu, era n'emizabbibu emirungi gye musimbye, temulinywa mwenge ogugivaamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale kubanga mulinnyirira omwavu, ne mumukamula eŋŋaano: mwazimba ennyumba ez'amayinja amateme, naye temulizituulamu; mwasimba ensuku z'emizabbibu ezisanyusa, naye temulinywa mwenge gwamu.