Amos 5:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga mmanyi emisango gyammwe bwe gyenkana obungi, n'ebibi byammwe bwe byenkana obunene. Mmwe, abanyigiriza omutuukirivu, ne mulya enguzi, abaavu ne mubasindiikiriza eri ku miryango gy'ekibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebibi byammwe mbimanyi, nga bingi ate nga bisasamaza. Munyigiriza omutuukirivu ne mulya n’enguzi, abaavu temubasalira musango mu bwenkanya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmanyi ebyonoono byammwe bwe byenkana obungi n'emisango gye muzzizza bwe gyenkana obunene. Muyigganya abatuukirivu, mulya enguzi, era temusala misango gy'abaavu mu bwenkanya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmanyi ebibi byammwe we byenkana obungi, n'emisango gye muzzizza, we gye nkana obunene. Muyigganya abatuukirivu, mulya enguzi, era mugoba emisango gy'abaavu, ne mutabasalira mazima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mmanyi ebyonoono byammwe bwe byenkana obungi n'ebibi byammwe bwe byenkana amaanyi mmwe ababonyaabonya omutuukirivu, abalya enguzi, era abagobera abo abeetaaga mu mulyango.