Amos 5:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Munoonye ekirungi, sso si ekibi, mulyoke mubeere balamu, n'Omukama Katonda w'Amagye lw'anaabeera nammwe, nga bwe mugambye nti bw'ali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Munoonyenga okukola obulungi, so si obubi munaabeeranga balamu! Bw’atyo Mukama Katonda ow’Eggye anaabeeranga mubeezi wammwe nga bulijjo bwe mumuyita.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mufube okukola ebirungi, sso si ebibi, lwe munaabeera abalamu, olwo, Mukama Katonda ow'eggye anaabanga nammwe, nga bwe mugamba nti ali nammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mufube okukola ebirungi, sso si ebibi, lwe munaabanga abalamu. Olwo Mukama, Katonda Nnannyinimagye anaabanga nammwe, nga bwe mugamba nti ali nammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Munoonye obulungi so si bubi, mulyoke mubeerenga abalamu: kale Mukama Katonda ow'eggye anaabanga nammwe nga bwe mwogera.