Amos 5:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukyawe ekibi, mwagale ekirungi; mulamule mu bwenkanya ku mulyango, oboolyawo Omukama Katonda w'Amagye, anaddiramu abasigaddewo mu Yozefu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukyawe ekibi, mwagalenga ekirungi era embuga z’amateeka zibeerengamu obwenkanya. Oboolyawo Mukama Katonda ow’Eggye anaabakwatirwa ekisa abantu abo abaasigalawo ku Yusufu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukyawenga obubi, mwagalenga obulungi, musalenga amazima mu mbuga zammwe, oboolyawo Mukama Katonda ow'eggye alikwatirwa ekisa ekitundu kya Yusufu ekifisseewo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukyawenga ebibi, mwagalenga ebirungi. Musalenga amazima mu mbuga zammwe. Oboolyawo Mukama, Katonda Nnannyinimagye alikwatirwa ekisa Abayisirayeli abalisigalawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukyawenga obubi, mwagalenga obulungi, munywezenga eby'ensonga mu mulyango: mpozzi Mukama Katonda ow'eggye alikwatirwa ekisa ekitundu kya Yusufu ekifisseewo.