Amos 5:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olw'ekyo kino ky'agamba Omukama Katonda w'Amagye: “Walibaawo okukuba ebiwoobe mu nguudo wonna, nga bakaaba mu mpya zonna nti: ‘Woowe! Woowe!’ Baliyita abalimi bajje bakube ebiwoobe, n'abakungubazi bajje balire.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Walibeerawo okwaziirana mu nguudo n’okukaaba mu buli kibangirizi eky’omu kibuga. N’abalimi baliyitibwa, bakaabe, n’abakungubazi bakube ebiwoobe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olwekyo Mukama Katonda ow'eggye, Mukama, agamba bw'ati, “Walibaawo okukuba ebiwoobe mu nguudo, era baligenda baaziirana mu makubo gonna nti, ‘Woowe, woowe!’ Baliyita omulimi okukuba ebiwoobe awamu n'abo abapangisibwa okukungubagira abafu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama, Katonda Nnannyinimagye kyava agamba nti: “Walibaawo okukuba ebiwoobe mu nguudo, era wonna mu makubo, baligamba nti: ‘Zitusanze!’ Baliyita abalimi okukungubagira awamu n'abo abasasulibwa olw'okukungubagira abafu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda ow'eggye, Mukama kyava ayogera bw'ati nti Ebiwoobe biriba mu nguudo zonna engazi era balyogerera mu makubo gonna nti Woowe, woowe! kale baliyita omulimi okukuba ebiwoobe, n'abo abalina amagezi okukungubaga okukuba ebiwoobe.