Amos 5:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olunaku lw'Omukama teruliba lunaku lwa kizikiza sso si lwa kitangaala? Teruliba lwa kazigizigi awatali na kitangaala?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olunaku lwa Mukama, teruliba kizikiza awatali kitangaala n’akatono, ng’ekizikiza ekikutte ennyo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olunaku lwa Mukama luliba lwa kizikiza, sso si lwa kitangaala, luliba lwa kizikiza ekikute omutali katangaala konna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olunaku lwa Mukama luliba lwa kizikiza, sso si lwa kitangaala, lwa kizikiza ekikutte, omutali katangaala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olunaku lwa Mukama teruliba kizikiza so si musana? ekizikiza zigizigi so nga temuli katangaala?