Amos 5:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukongozze Sakkuti kabaka wammwe, ne Kayiwani lubaale wammwe ow'emmunyeenye, ebifaananyi byammwe bye mwekolera mmwe mwennyini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muyimusizza essabo lya kabaka wammwe, amaanyi ga bakatonda bammwe, n’emmunyeenye ya katonda wammwe, bye mwekolera mmwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kaakano nga bwe musinza ebifaananyi bye mwekolera ebya Sikusi, ne Kiyuni, n'emmunyeenye nga be ba katonda bammwe, ebyo bye muba mutwala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kaakano nga bwe musinzizza ebifaananyi bye mwekolera ebya Sakkuti, kabaka lubaale wammwe, n'ebya Kayiwaani, emmunyeenye lubaale wammwe, mulitwala ebifaananyi ebyo
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weewaawo, mwasitulanga Sikusi kabaka wammwe ne Kiyuni, ebifaananyi byammwe, emmunyeenye ya katonda wammwe, bye mwekolera.