Amos 5:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino ky'agamba Omukama Katonda: 2 “Ekibuga ekyafulumyanga abantu olukumi mulisigalamu kikumi; ekyafulumyanga ekikumi mulisigalamu kkumi ku lw'ennyumba ya Yisirayeli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Ekibuga ekiyungula abalwanyi olukumi okugenda mu lutalo kirisigazaawo kikumi bokka, n’ekyo ekiweereza ekikumi, kirizza kkumi bokka!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, “Ekibuga ky'omu Isiraeri ekyasindikanga abalwanyi olukumi (1,000) mu lutalo kirisigazaawo kikumi (100), n'ekyo ekyasindikanga ekikumi (100) kirisigazaawo kkumi (10) bokka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda agamba nti: “Ekibuga ky'omu Yisirayeli ekisindika abalwanyi olukumi, kikumi bokka be balikomawo. Ekyo ekisindika ekikumi, abalwanyi kkumi bokka be balikomawo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ekibuga ekyavangamu olukumi kirisigazaawo kikumi, n'ekyo ekyavangamu ekikumi kirisigazaawo kkumi, eri ennyumba ya Isiraeri.