Amos 5:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Munoonye Omukama, olwo munaalama; oba si ekyo nzija kuyita mu nnyumba ya Yozefu ng'omuliro, gulisenkenya, era ku Beteli teriba azikiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Munoonye Mukama munaabanga balamu aleme okubuubuuka ng’omuliro ku nnyumba ya Yusufu; guligyokya nga tewali wa kuguzikiza mu Beseri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Munoonye Mukama, kale munaabanga balamu, aleme okubuubuuka ng'omuliro ku nnyumba ya Yusufu, ne gugyokya so nga tewali wa kuguzikiza mu Beseri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mugende eri Mukama, munaabanga balamu. Mukama aleme kubuubuuka ng'omuliro ku Bayisirayeli, ne gwokya abantu b'e Beteli, nga tewali ayinza kuguzikiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Munoonye Mukama, kale munaabanga balamu; aleme okubuubuuka ng'omuliro mu nnyumba ya Yusufu, ne gwokya so nga tewali wa kuguzikiza mu Beseri: