Amos 5:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyakola Emmunyeenye Omusanvu ne Oriyoni, enzikiza ekutte agifuula amakya, omusana n'aguddugaza ne gufuuka ekiro, ayita amazzi g'omu nnyanja n'agayiwa ku lukalu, Omukama lye linnya lye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo eyakola ettendo eriri mu mmunyeenye ezaaka ng’ebizungirizi era afuula ekisiikirize okubeera enkya era akyusa obudde ne buva mu kitangaala ne bufuuka ekiro, ayita amazzi g’omu nnyanja ne gafukirira ensi ng’enkuba, Mukama lye linnya lye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
munoonye oyo eyakola emmunyeenye zi kakaaga n'entungalugoye, afuula ekizikiza okuba omusana, afuula obudde obw'emisana ne bufuuka ekiro. Ayita amazzi ag'omu nnyanja n'agayiwa ku lukalu. Mukama lye linnya lye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama ye yatonda emmunyeenye zi Puleyade ne Oriyoni. Ekibadde ekizikiza ye akifuula okuba omusana. N'obudde obubadde obw'emisana, ye abufuula okuba obw'ekiro. Ye ayita amazzi ag'omu nnyanja n'agayiwa ku lukalu. Erinnya lye ye Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
munoonye oyo akola kakaaga n'entungalugoye, era afuula ekisiikirize eky'okufa okuba enkya, era asiikiriza omusana n'ekiro; ayita amazzi ag'omu nnyanja n'agafuka ku maaso g'olukalu; Mukama lye linnya lye;