Amos 6:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zibasanze mmwe abeegandalidde mu Siyoni! Nammwe abeetuulidde entende ku lusozi lwa Samariya; abeebitiibwa mu ggwanga lino erisooka mu malala, ennyumba ya Yisirayeli gy'ejja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zibasanze abo abateefiirayo mu Sayuuni, n’abo abawulira emirembe ku lusozi lw’e Samaliya. Mmwe abasajja abeekitiibwa ab’ensi enkulembeze, abantu ba Isirayiri gye beeyuna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Zibasanze mmwe abali obulungi mu Sayuuni nammwe abatalina kye batya ku lusozi lw'e Samaliya, abasajja ab'amaanyi ab'omu ggwanga erisinga amawanga gonna obukulu, abantu gye bajja okunoonya obuyambi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zibasanze mmwe abali obulungi mu Siyooni, nammwe abatalina kye mweraliikirira ku lusozi lwa Samariya, mmwe abakungu mu ggwanga lya Yisirayeli, ekkulu mu mawanga gonna, mmwe, abantu gye bajja okunoonya obuyambi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zibasanze abo abeegolodde mu Sayuuni n'abo abataliiko kye batya ku lusozi lw’e Samaliya, abasajja ab'amaanyi ab'omu ggwanga erisinga amawanga obukulu, abajjirwa ennyumba ya Isiraeri!