Amos 6:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ow'oluganda alijja okwokya emirambo, aggyewo amagumba mu nnyumba, bw'alibuuza yenna aliba akyali mu nnyumba eyo ebuziizi nti: “Waliyo abalala?” alimuddamu nti: “Teriiyo.” Olwo ono alimugamba nti: “Sirika! Erinnya ly'Omukama tetuteekwa kulyatula.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era singa ow’ekika akola ku by’okuziika, anaaba afulumya amagumba n’abuuza oba waliwo omuntu yenna eyeekwese munda mu nnyumba, oba alina gwe yeekwese naye, n’addamu nti, “Nedda,” olwo omuziisi anaamusirisa ng’agamba nti, “Sirika; tetwogera ku linnya lya Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ow'oluganda lw'omufu, era ateekwa okumuziika, bw'alifulumya omulambo mu nnyumba, alibuuza oyo akyasigadde mu nnyumba nti, “Wakyaliwo omulala ali naawe?” Oli alimuddamu nti, “Nedda.” Ono alimugamba nti, “Sirika, kubanga tetuyinza kwatula linnya lya Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Owooluganda lw'omufu, era ateekwa okumuziika, bw'alifulumya omulambo mu nnyumba, alibuuza oyo akyasigadde mu nnyumba nti: “Wakyaliyo omulala ali naawe?” Oli aliddamu nti: “Nedda.” Ono aligamba nti: “Sirika, tuleme wadde okwatula erinnya lya Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omuntu bw'anaasitulibwa kojjaawe, oyo amwokya, okuggya amagumba mu nnyumba, n'agamba oyo ali mu njuyi ez'ennyumba ez'omunda nti Wakyaliwo ali naawe? naye n'addamu nti Nedda; kale n'alyoka ayogera nti Sirika; kubanga tetuyinza kwatula linnya lya Mukama.