Amos 6:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omukama awadde ekiragiro: “Ennyumba ennene egenda kukoonakoonebwa esigale mafunfugu, n'akayumba akatono kalisigala kifulukwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba Mukama alagidde, ennyumba ennene erimenyebwamenyebwa, n’ennyumba entono erimenyebwamenyebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga, Mukama bw'aliragira, ennyumba ennene n'entono zirimenyebwamenyebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama bw'aliragira, ennyumba ennene n'entono zirimenyebwamenyebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga, laba, Mukama alagidde, n'ennyumba ennene eriwagulwamu ebituli n'ennyumba entono eribaamu enjatika.