Amos 6:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Embalaasi ziddukira mu njazi? Ennyanja bagirimisaamu nte? Naye mmwe lwaki nno obutuufu mubufudde obutwa, n'ekibala ky'obutuukirivu ne mukifuula omususa?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kisoboka embalaasi okuddukira ku mayinja? Waali wabaddewo abalima ku mayinja n’enkumbi ezisikibwa ente? Naye obwenkanya mubufudde obutwa n’ekibala eky’obutuukirivu ne mukifuula ekikaawa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Embalaasi ziriddukira ku lwazi? Omuntu alimisa ente ku nnyanja? Naye mmwe, obwenkanya mubufudde butwa, n'ekituufu mukifudde kikyamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Embalaasi ziddukira ku lwazi? Abantu balimisa ente ku nnyanja? Naye mmwe, obwenkanya mubufudde butwa, n'ekituufu mukifudde kikyamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Embalaasi ziriddukira mbiro ku lwazi? omuntu alirimira okwo n'ente? mmwe okufuula ne mufuula omusango okuba omususa n'ebibala eby'obutuukirivu okuba abusinso: