Amos 6:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe abasanyuka olwa Lo-Dabari, abagamba nti: ‘Tetwawamba Karunayimu n'amaanyi gaffe?’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwenyumiririza bwereere nti muli b’amaanyi olw’okuba nga mwawamba ekibuga Lodeba. Mwogera nti, “Tetwawamba Kanayimu n’amaanyi gaffe?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwenyumiriza nti muli ba maanyi kubanga mwawamba ekibuga Lodebari.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musanyuka olw'okuwamba ekibuga Lodebari, era mwewaana nti: “Twefunidde ekibuga Karinayimu olw'amaanyi gaffe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mmwe abasanyukira ekintu ekitaliiko kye kigasa, aboogera nti Tetwefunidde mayembe olw'amaanyi gaffe ffe?