Amos 6:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti Omukama Katonda w'Amagye agamba nti: “Nnyumba ya Yisirayeli, nzija kukusiikulira eggwanga, likunyigirize okuviira ddala e Lebo-Kamati okutuusa ku Kiwonvu Araba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda ow’Eggye agamba nti, “Ndibasindikira eggwanga libalumbe, mmwe ennyumba ya Isirayiri; liribajooga ebbanga lyonna okuva e Lebo Kamasi okutuuka mu kiwonvu kye Alaba.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, Mukama Katonda ow'eggye agamba nti, “Mmwe abantu ba Isiraeri, ŋŋenda kubasindikira eggwanga okuwamba ensi yammwe, era balibabonyaabonya okuviira ddala awayingirirwa e Kamasi okutuuka ku kagga aka Alaba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda Nnannyinimagye agamba nti: “Mmwe Abayisirayeli, nja kusindika ab'eggwanga eddala, beefuge ensi yammwe. Balibabonyaabonya mmwe, okuviira ddala mu Hamati, okutuuka ku kagga ak'e Araba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga, laba, ndibayimusizaako eggwanga, ai ennyumba ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama Katonda ow'eggye; era balibabonyaabonya okuva awayingirirwa e Kamasi okutuuka ku kagga aka Alaba.