Amos 6:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwebaka ku bitanda eby'amasanga, ne mwegololera ku buliri bwammwe; mulya obuliga bwe mulondobye mu ggana, n'obuyana okuva mu kisibo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mugalamira ku bitanda ebyakolebwa mu masanga ne muwummulira mu ntebe ennyonvu nga muvaabira ennyama y’endiga n’ey’ennyana ensava.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zibasanze mmwe abagalamira ku bitanda eby'amasanga, ne mulya endiga ento, n'ennyana ez'omu bisibo byammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ziribasanga mmwe abagalamira ku bitanda eby'amasanga, ne mulya endiga ento, n'ennyana ez'omu magana gammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abagalamira ku bitanda eby'amasanga ne beegolorera ku biriri byabwe, ne balya abaana b'endiga ab'omu kisibo, n'ennyana nga baziggya mu kisibo;