Amos 6:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwekyo nno mujja kubeera mu banaasooka okuwaŋŋangusibwa; okucakala kw'abeebaka ne beegolola kujja kukoma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo mmwe mulisooka okugenda mu buwaŋŋanguse. Era embaga zammwe n’okwewummuza birikoma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale mmwe munaasooka okugenda mu buwanganguse, embaga n'ebinyumu byammwe, mmwe abagayaavu birikoma.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale mmwe mulikulemberamu olunyiriri lw'abalitwalibwa mu buwaŋŋanguse. N'ebinyumu byammwe, mmwe abagayaavu, birikoma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale kyebaliva bagenda mu busibe wamu n'abo abaasooka okugenda mu busibe, n'ebinyumu by'abo abeegolola birivaawo.